menu-iconlogo
logo

Kanyimbe

logo
Letras
Amazima ddala nkimanyi nti Mukama omanyi

Bwentunula gyewanzigya abalala gyewabaleka

Ondwanila entalo abalabe zebaleeta

Kale nebwebayimuka nga Mukama wooli sitya

Si nsonga wadde nga silina maanyi

Kuba Mukama atuula mu nze oli wamanyi ssebo

Si nsonga wadde nga silina ssente

Kuba gwe Katonda gwensiinza ensi yiyo eno

Kanyimbe nyimuse elinya lyo Yesu

Mukama wotoli nze nandibadde ntya

Ne bino byona Mukama ebinuma

Bitwaale abalabe bange banzigyeko olukongoolo

Bwentunula amazima ndaba nti awatali gwe Mukama

Ye nze nandibadde ntya Enaku nandigizize wa

Nekweeka mu gwe olwaazi olwaase

Mukama mazima oli mwesigwa gw'omanyi ebyange

Saasira obunafu bwange amaziga ago genkukaabira

Kuba mu maaso go kitange ndi mwaana ssebo

Saasira ebyoonoono byange Mukama bwenkusobya

Tohila busungu tova ku ludda lwange

Kanyimbe nyimuse elinya lyo Yesu

Mukama wotoli nze nandibadde ntya

Ne bino byona Mukama ebinuma

Bitwaale abalabe bange banzigyeko olukongoolo

Nyamba nsobole okusonyiwa nange abansobya

Yadde byebankola bimenya omutima

Abali eyo abateesa engeri gyebansuula

Mukama maanyi obalaba bakyankalanye

Nyamba nsobole okukozesa ekitone kyompadde

Ela nsaba onyambe onzigyemu amalala

Nsaba okozese obulamu bwange

Nga nkyalina amanyi onkozese ebinene

Kanyimbe nyimuse elinya lyo Yesu

Mukama wotoli nze nandibadde ntya

Ne bino ne bino ne bino

Ne bino byona Mukama ebinuma

Bitwaale abalabe bange banzigyeko olukongoolo

Kanyimbe nyimuse elinya lyo Yesu

Elinya lyo Yesu

Mukama mukama wotoli nze nandibadde ntya

Ne bino byona Mukama ebinuma

Bitwaale abalabe bange banzigyeko olukongoolo